Bukedde ku Sande Home Advertise Here
Search:  
Advanced Search in the Archive
   Discussion Board | Archive | Advertising | About Us | Staff |  Contact Us  
 BUKEDDE | ORUMURI | RUPINY | ETOP | SUNDAY VISION | BUKEDDE KU SSANDE
OMUKO OGUSOOKA

AMAWULIRE

EKIROWOOZO

EBBALUWA

EBYEMIZANNYO

EBYEDDIINI

ENSI EGUDDE EDDALU?

OKUTUNUULIRA AMAWULIRE

BUKEDDE BANNYANIKE

ZIRABAMUZAALE

TUWAYE

MANYA GY’OVA

EMBOOZI

Abenvuma be babajja Ddamula

Abako Abaziranvuma bwe batyo bwe baasalawo okutambula ng’Abaganda. Bwe baali ku mukolo gw’okwanjula ogumu, baalambulula bwe batyo obuvo n’obuddo bwabwe.

ABENVUMA bakulu nnyo mu Lubiri lwa Kabaka kubanga be babajja Ddamula.Omukulu w’ekika Owaakasolya ye Kyaddondo atuula e Kawempe mu Kyaddondo. Akabbiro kaabwe Katinvuma. Omubala gwabwe guvuga nti, ‘Mpa adduka (okulwana) aliddayo mu Kyaddondo.’ Byeyongerayo...

Muvubuka mukulike enkumbaali

Balikuddembe ng’agumya omuko eyali alindirira kabiite we mu kwanjula.

EBIBUUKA bitalagaanye nga bwe bikubagana empawa, omwogezi bw’atakutemyako kukozesa lulimi lugonvu, weekanga aswazizza abaamuguze. Byeyongerayo...

‘Twesogga embuga y’empologoma’

MU maka ga Kirimuttu ow’omukwano eyasinga okunjagala ye Meeya. Yali muwala mulungi lwondo, teyali muyimbulukufu, yali mutono omugoogofu era omusoobolokofu. Engalo ze n’ebigere byali bya nkago, amatu ge gaali mawanvu ate nga gaakuba embuga ngazi, omutwe gwali gwa masiga, amaaso manene naye nga galimu empujjo ntono ddala. Byeyongerayo...

Okutereeza emboozi ya Ssande ewedde

OKUTEGEERA ng’ekigambo eky’obuko kyatiibwanga nnyo, omuntu bwe yasobyanga n’akwata ku mukaamwanawe, ate oluvannyuma n’alwala, nga bajjukira ekyo nti; munnaffe ono ky’avudde alwala bw’ati kubanga yakwata ku mukaamwana.
 Byeyongerayo...

Wagala obwongo

Ensangi zino abagole bakozesa kkeeki okuliisagana ku mbaga okulaga omukwano gwabwe, ab’edda bo baakozesanga ki okwoleka omukwano gwabwe? ........ Byeyongerayo...

Obumu bw’enkuyege

ENKUYEGE zirina omukwano omusuffu eri nnamunswa era tezaagala amukoonako. Zirimu ebika ebiwerako okuli ez’omu biswa ebinene, ez’omu nkulukuku n’ez’omu ssanja. Zikwata kisooka mu kwonoona ebintu naddala emiti n’ebimera era zireka bangi bakaaba.
 Byeyongerayo...

LATEST HEADLINES
Top LRA rebel sent to war crimes court

More...

MP murder trial postponed

More...

enteruganda

Looking for business in Uganda... Look in the business directory of enterUganda !!!

© Copyright The New Vision 2000-2010. All rights reserved.